Aba Rotary ye Nalumunye bakoze bulungibwansi

ABA Rotary y’e Nalumunye nga bakwataganidde wamu ne Nalumunye Kwagalana group ne kampuni enjoozi ya kasasiro eya Home Helper service ltd beekozeemu omulimu ne bakola bulungibwansi mwe bayonjerezza e akabuga ka Kidomoole e Nalumunye mu muluka gwa Kasenge ward.

Bano baagogodde emyala okukung’aanya kasasiro mu kitundu, okusaawa enguudo n’ebirala.

Pulezidenti wa Nalumunye rotary Club, Paddy Lukwago yagambye nti nga rotary essira balissa nnyo ku kutumbula embeera z’abantu y’ensonga lwaki babadde basaale mu kuyonja kuno.

Ssentebe wa LC2 mu Kasenge ward, Evans Kityo asiimye abeetabye mu kuyonja kuno bonna naasaba abantu ate obutaddemu kusasaanya kasasiro gye yagiddwa.

Dayirekita wa Home helper, Joseph Mutebi yanyonyodde nti buzibu bwebasinga okusanga nga bakunganya kasasiro obw’abantu abaajeema okukunyiza kasasiro mu kifo ekimu.

Ssentebe wa Nalumunye Kwagalana group, Davis Bariho yagambye nti ebintu nga bino bikulu nnyo abantu abawangalira mu kitundu ekimu okubyenyigiramu olw’ensonga nti bibayamba okwegatta mu kitundu.

Okuyonja kwetabidwamu abantu abalala okwabadde abaana abato abali mu lumula, abavuzi ba bodaboda, aba zibizinensi n’abalala.